Ensonga mwenda lwaki tolina kupatana na kkampuni ezirima ebinazzi mbu olimira ku kontulakiti

Image
Cover nine reasons

>>> Ensonga mwenda lwaki tolina kupatana na kkampuni ezirima ebinazzi mbu olimira ku kontulakiti  (PDF)

Ekigendererwa kya kkampuni ezirima ebinazzi kyakukola magoba. Ogwabwe gwakufuba kulaba nti bassaamu kitono ddala mu kulima ebinazzi bino ate batunde bingi nga bwekisoboka. Obunene bw’ettaka lyebafuna bwebungi bwebinazzi byebatunda. Kkampuni ezirima ebinazzi zifuukidde ddala eky’obulabe eri obulimi bwa wansi mu bitundu bingi.

Olw’ okuba nti kkampuni zino zirina obuwagizi bwa gavumenti n’ ebitongole ebitwala ebyenfuna nga zi banka, zizze zezza obwaguuga n’obwaguuga bw’ettaka eryali likozesebwa abantu ba bulijjo. Bano basanyizzaawo ennyanja n’ ebidiba ebivubwamu, ettaka ejjimu balyezizza omuli n’ery'ebibira. Bino byonna bivuddemu:

Emirimu egitondebwawo mitono, gisasula bubi ate nga gyabulabe: KKampuni zino ziwuddiisa abantu n’okutondawo emirimu naye ng’egimu ku gino gyabulabe ddala eri abantu. Emirimu gino gisasula bubi ate nga gyakaseera ate nga kyangu n’okugifuniramu obubenje obukosa obulamu.

Bittattana ettaka n’obulamu: Ebijimusa n’eddagala erikozesebwa kkampuni zino bittattana ettaka n’amazzi g'okunywa mu bitundu gyezikolera. Bino era bikosa n’obulamu bw’abantu abakolera mu kkampuni zino kko n’ebitundu ebiziriraanye. Abakozi abasinga okukola ku gw’okufuuyira eddagala batera kubeera bakyala.

Obukuubagano: Abantu mu bifo kkampuni ezirima ebinazzi gyezisimba amakanda babeera mu bulabe bw’okufiirwa ettaka lyabwe n’okusendebwa akaseera konna. Kkampuni zino zikugira abantu okwetaaya ssonga nga n’okulondoolwa kakodyo akakozesebwa ennyo kkampuni zino.

Okutulugunya abakyala: Abakyala bangi basanze obuzibu okukolera mu kkampuni zino n’ebitundu ebiziriraanye nga bangi batyoboolwa olw’ekikula kyabwe omuli n’okubakaka omukwano.

Olw’ensonga nti abantu abawakanya kkampuni zino ezirima ebinazzi beeyongedde, zino nazo tezitudde nga zitandise okukozesa obukodyo obutali bumu okwezza ettaka ly’abantu omuli n’okusikiriza abantu okulima ebinazzi ku ttaka lyabwe wansi w'enkola ya kontulakiti.Kino kiwa omukisa kkampuni zino okuba n’obuyinza ku ttaka ly’abantu n’ekigendererwa ky’okwongera ku binazzi ebirimwa nga tezirabise butereevu nti zisengudde abantu okwewala okuwakanyizibwa. Gavumenti nno nazo bitandise okutumbula kkampuni zino nga kino nakyo kikolebwa okwetangira okuwakanyizibwa abantu ba bulijjo.

Kontulakiti zino era zifuuse akamasu akakozesebwa okufuna ensimbi mu banka ezikola ku byenkulakulana, ebitongole bya gavumenti, n’abagabirizi b’obuyambi. Bwebatuuka eyo gyebasaka bamusiga nsimbi babalaga nga kontulakiti zino bweziyamba abalimi abatonotono ekintu ekyobulimba.